Habakkuk 3

Okusaba kwa Kaabakuuku

1Okusaba kwa nnabbi Kaabakuuku, okw’Ekisigiyonosi.

2 aAyi Mukama, mpulidde ebigambo byo;
mpulidde ettutumu lyo Ayi Mukama, ne ntya.
Bizze buggya mu nnaku zaffe,
bimanyise mu biro bino,
era mu busungu jjukira okusaasira.

3 bKatonda yajja ng’ava e Temani,
Omutukuvu oyo ng’ava ku lusozi Palani.
Ekitiibwa kye kyatimbibwa ku ggulu,
ensi n’eryoka ejjula ettendo lye.
4Okumasamasa kwe ne kulyoka kubeera ng’enjuba evaayo.
Ebimyanso byayakanga okuva mu mukono gwe,
era omwo mwe mwasinziiranga amaanyi ge ag’ekitalo.
5Kawumpuli ye yakulembera,
Endwadde endala zinaamutta ne zigoberera.
6 cYayimirira n’anyeenyanyeenya ensi;
Yatunula n’akankanya amawanga.
Ensozi ez’edda za merenguka,
obusozi obw’edda ne buggwaawo. Engeri ze, za mirembe na mirembe.
7 dNalaba eweema z’e Kusani nga ziri mu nnaku:
n’entimbe ez’ensi ya Midiyaani nga zijugumira.

8 eAyi Mukama, wanyiigira emigga?
Obusungu bwo bwali ku bugga obutono?
Wanyiigira ennyanja
bwe weebagala embalaasi zo,
n’olinnya ku magaali go ag’obuwanguzi?
9 fWasowolayo akasaale ko,
wategeka okulasa obusaale;
ensi n’ogyawulayawulamu n’emigga.
10 gEnsozi zaakulaba, ne zeenyogootola;
Amataba ne gayitawo mbiro,
obuziba bw’ennyanja ne buwuluguma,
ne busitula amayengo gaayo waggulu.

11 hEnjuba n’omwezi ne biyimirira butengerera mu bifo byabyo,
olw’okumyansa kw’obusaale bwo nga buwenyuka,
n’olw’okumyansa kw’effumu lyo eritemagana.
12 iWatambula okuyita mu nsi ng’ojjudde ekiruyi,
wasambirirasambirira amawanga mu busungu bwo.
13 jWavaayo oleetere abantu bo obulokozi,
olokole gwe wafukako amafuta;
Wabetenta omukulembeze w’ensi ekola ebibi,
ng’omwerulira ddala okuva ku mutwe okutuuka ku bigere.
14 kWafumita omutwe gwe n’effumu lye ye,
abalwanyi be bwe baavaayo okutugoba,
nga bali ng’abanaatumalawo,
ffe abaali baweddemu essuubi nga twekwese.
15 lWalinnyirira ennyanja n’embalaasi zo,
n’otabangula amazzi amangi.

Okusanyukira mu Mukama

16Nawulira, n’omutima gwange ne gukankana
n’emimwa gyange gijugumira olw’eddoboozi eryo;
Obuvundu ne buyingira mu magumba gange,
amagulu gange ne gakankana.
Naye nnaalindirira n’obugumiikiriza olunaku olw’okulabiramu ennaku
bwe lulijjira eggwanga eritulumba.
17 mWadde omutiini tegutojjera,
so n’emizabbibu nga tegiriiko bibala,
amakungula g’emizeeyituuni ne gabula,
ennimiro ne zitabala mmere n’akamu,
endiga nga ziweddemu mu kisibo,
nga n’ente tezikyalimu mu biraalo,
18 nkyokka ndijaguliza Mukama,
ne nsanyukira mu Katonda Omulokozi wange.

19 o Mukama Katonda, ge maanyi gange;
afuula ebigere byange okuba ng’eby’empeewo,
era ansobozesa okutambulira mu bifo ebigulumivu.

Ya Mukulu wa Bayimbi, ku bivuga byange ebirina enkoba.
Copyright information for LugEEEE